YouVersion Logo
Search Icon

Matayo 5

5
1 # Luk 6:20-26 Bwe yalaba ebibiina, n'alinnya ku lusozi: n'atuula wansi, abayigirizwa be ne bajja gy'ali: 2n'ayasamya akamwa ke, n'abayigiriza ng'agamba nti
3 # Is 57:15 Balina omukisa abaavu mu mwoyo: kubanga abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe.
4 # Zab 126:5, Is 61:3, Kub 7:17 Balina omukisa abali mu nnaku: kubanga abo balisanyusibwa.
5 # Zab 37:11 Balina omukisa abateefu: kubanga abo balisikira ensi.
6Balina omukisa abalumwa enjala n'ennyonta olw'obutuukirivu: kubanga abo balikkusibwa.
7 # Yak 2:13 Balina omukisa ab'ekisa: kubanga abo balikwatirwa ekisa.
8 # Zab 24:4; 51:10; 73:1, 1 Yok 3:2,3 Balina omukisa abalina omutima omulongoofu: kubanga abo baliraba Katonda.
9Balina omukisa abatabaganya: kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda.
10 # 1 Peet 3:14 Balina omukisa abayigganyizibwa olw'obutuukirivu: kubanga abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe. 11#1 Peet 4:14Mmwe mulina omukisa bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, bwe banaabawaayiranga buli kigambo kibi, okubavunaanya nze. 12#Yak 5:10, Beb 11:33-38Musanyuke, mujaguze nnyo: kubanga empeera yammwe nnyingi mu ggulu: kubanga bwe batyo bwe baayigganya bannabbi abaasooka mmwe.
13 # Mak 9:50, Luk 14:34,35 Mmwe muli munnyo gwa nsi; naye omunnyo bwe guggwaamu ensa, balirungamu munnyo nnabaki? Tegukyasaana nate, wabula okusuulibwa ebweru, abantu okugulinnyirira. 14#Yok 8:12Mmwe muli musana gwa nsi. Ekibuga bwe kikubibwa ku lusozi, tekiyinzika kukisibwa. 15#Mak 4:21So tebakoleeza ttabaaza okugivuunikira mu kibbo; wabula okugiteeka waggulu ku kikondo kyayo; nayo ebaakira bonna abali mu nju. 16#Bef 5:8,9, 1 Peet 2:12Kale omusana gwammwe gwakenga bwe gutyo mu maaso g'abantu, balabenga ebigambo ebirungi bye mukola, balyoke bagulumizenga Kitammwe ali mu ggulu.
17 # Mat 3:15, Bar 3:31; 10:4 Temulowoozanga nti najja okudibya amateeka oba ebya bannabbi: sajja kudibya, wabula okutuukiriza. 18#Luk 16:17; 21:33Kubanga mbagamba mazima nti Eggulu n'ensi okutuusa lwe biriggwaawo, ennukuta emu newakubadde akatonnyeze akamu ak'omu Mateeka tekaliggwaawo, okutuusa byonna lwe birimala okutuukirira. 19#Yak 2:10, 1 Kol 15:9Kale buli anaadibyanga erimu ku mateeka ago wadde erisinga obutono era anaayigirizanga abantu bw'atyo, aliyitibwa mutono mu bwakabaka obw'omu ggulu: naye buli anaagakwatanga era anaagayigirizanga, oyo aliyitibwa mukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu. 20Kubanga mbagamba nti obutuukirivu bwammwe bwe butaasingenga butuukiruvu bwa bawandiisi n'Abafalisaayo, temuliyingira n'akatono mu bwakabaka obw'omu ggulu.
21 # Kuv 20:13; 21:12, Leev 24:17, Ma 17:8,9 Mwawulira ab'edda bwe baagambibwa nti Tottanga; naye omuntu bw'anattanga, anazzanga omusango: 22#1 Yok 3:15naye nange mbagamba nti buli muntu asunguwalira muganda we, alizza omusango; naye anaagambanga muganda we nti Laka, asaanidde okutwalibwa mu lukiiko, naye anaagambanga nti Musirusiru, asaanidde okusuulibwa mu Ggeyeena ey'omuliro. 23#Mak 11:25Kale, bw'obanga oleese ssaddaaka yo ku kyoto, bw'oyima eyo n'omala ojjukira nga muganda wo akuliko ekigambo, 24leka awo ssaddaaka yo mu maaso g'ekyoto, oddeyo, osooke omale okutagabana ne muganda wo, olyoke okomewo oweeyo ssaddaaka yo. 25#Mat 6:14,15; 18:35, Luk 12:58,59Yagalananga mangu n'oyo akuwawaabira ng'okyali naye mu kkubo; akuwawaabira alemenga okukutwala eri katikkiro, so ne katikkiro alemenga okukuwa omumbowa, era olemenga okuteekebwa mu kkomera. 26Mazima nkugamba nti Tolivaamu, okutuusa lw'olimala okukomekkereza n'eppeesa erimu.
27 # Kuv 20:14 Mwawulira bwe baagambibwa nti Toyendanga: 28#Yob 31:1, 1 Peet 2:14naye nange mbagamba nti buli muntu atunuulira omukazi okumwegomba, ng'amaze okumwendako mu mutima gwe. 29#Mat 18:8,9, Mak 9:43,47, 2 Kol 3:5Oba ng'eriiso lyo erya ddyo likwesittaza, liggyeemu, lisuule wala: kubanga kye kisinga obulungi ekitundu kyo ekimu kizikirire, omubiri gwo gwonna guleme okusuulibwa mu Ggeyeena. 30Era oba ng'omukono gwo ogwa ddyo gukwesittaza, gutemeko, gusuule wala: kubanga kye kisinga obulungi ekitundu kyo ekimu kizikirire, omubiri gwo gwonna guleme okugenda mu Ggeyeena. 31#Mat 19:3-9, Ma 24:1Baagambibwa nate nti Omuntu bw'agobanga mukazi we, amuwanga ebbaluwa ey'okumugoba: 32#Luk 16:18, 1 Kol 7:10,11naye nange mbagamba nti buli muntu agobanga mukazi we, wabula ogw'obwenzi, ng'amwenzezza: n'oyo awasanga gwe baagoba, ng'ayenze.
33 # Kuv 20:7, Leev 19:12, Kubal 30:2 Mwawulira ate ab'edda bwe baagambibwa nti Tolayiranga bya bulimba, naye otuukiririzanga Mukama by'olayira: 34#Mat 23:16-22, Is 66:1, Bik 7:49naye nange mbagamba nti Tolayiranga n'akatono, newakubadde eggulu, kubanga ye ntebe ya Katonda; 35#Zab 48:2newakubadde ensi, kubanga ye gy'ateekako ebigere bye; newakubadde Yerusaalemi, kubanga kye kibuga kya Kabaka omukulu. 36So tolayiranga mutwe gwo, kubanga toyinza kufuula luviiri lumu oba lweru oba luddugavo. 37#2 Kol 1:17, Yak 5:12Naye ebigambo byammwe bibeerenga nti Weewaawo, weewaawo; si weewaawo, si weewaawo: naye ebisinga ebyo biva mu mubi.
38 # Leev 24:19-20 Mwawulira bwe baagambibwa nti Eriiso ligattwenga eriiso, n'erinnyo ligattwenga erinnyo: 39#Yok 18:22,23, Leev 19:18#Luk 6:27-36naye nange mbagamba nti Temuziyizanga mubi: naye omuntu bw'akukubanga oluba olwa ddyo, omukyukizanga n'olwa kkono. 40#1 Kol 6:7Omuntu bw'ayagalanga okuwoza naawe okutwala ekkanzu yo, omulekeranga n'ekizibawo kyo. 41Omuntu bw'akuwalirizanga okutambula naye mairo emu, tambulanga naye n'ey'okubiri. 42Akusabanga omuwanga; omuntu bw'ayagalanga okumuwola, tomukubanga mabega.
43 # Leev 19:18 Mwawulira bwe baagambibwa nti Oyagalanga munno, okyawanga omulabe wo: 44#Kuv 23:4,5, Bar 12:14,20, Luk 23:34, Bik 7:60naye nange mbagamba nti Mwagalenga abalabe bammwe, musabirenga ababayigganya; 45#Bef 5:1mulyoke mubeerenga abaana ba Kitammwe ali mu ggulu: kubanga enjuba ye agyakiza ababi n'abalungi, abatonnyeseza enkuba abatuukirivu n'abatali batuukirivu. 46Kubanga bwe munaayagalanga ababaagala, mulina mpeera ki? n'abawooza tebakola bwe batyo? 47Bwe munaalamusanga baganda bammwe bokka, munaabasinzangawo ki? n'ab'amawanga tebakola bwe batyo? 48#Leev 19:2Kale mmwe mubeerenga abatuukirivu, nga Kitammwe ali mu ggulu bw'ali omutuukirivu.

Currently Selected:

Matayo 5: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy