YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 48

48
1Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne bagamba Yusufu nti Laba, kitaawo alwadde: n'atwala naye abaana be abasajja bombi, Manase ne Efulayimu. 2Ne bagamba Yakobo nti Laba, omwana wo Yusufu ajja gy'oli: Isiraeri ne yeekakaabiriza, n'atuula ku kitanda. 3#Lub 28:13,19Yakobo n'agamba Yusufu nti Katonda Omuyinza w'ebintu byonna yandabikira e Luzi munsi ya Kanani, n'ampa omukisa, 4#Lub 35:11,12n'aŋŋamba nti Laba, ndikwaza, ndikwongera, ndikufuula ekibiina ky'amawanga; era ndiwa ezzadde lyo eririddawo ensi eno okuba obutaka obw'emirembe n'emirembe. 5#Lub 46:20, Yos 14:4Ne kaakano abaana bo abasajja bombi, abaakuzaalirwa mu nsi y'e Misiri nga sinnakujjira mu Misiri, bange; Efulayimu ne Manase banaabanga bange, nga Lewubeeni se Simyoni. 6N'ezzadde lyo, ly'onoozaalanga oluvannyuma lw'abo, linaabanga liryo: banaatuumibwanga erinnya lya baganda baabwe mu busika bwabwe. 7#Lub 35:16-19Nange, bwe nnava mu Padani, Laakeeri n'anfaako mu nsi ya Kanani mu kkubo, nga wakyaliyo ebbanga ddeneko okutuuka ku Efulasi: ne mmuziika eyo mu kkubo erigenda e Efulasi (ye Besirekemu). 8Isiraeri n'alaba abaana ba Yusufu, n'ayogera nti Bano be baani? 9#Lub 33:5Yusufu n'agamba kitaawe nti Be baana bange Katonda be yampeera wano. N'ayogera nti Baleete, nkwegayiridde, nange naabasabira omukisa. 10Era amaaso ga Isiraeri gaali gazibye olw'obukadde, n'okuyinza teyayinza kulaba. N'abamusembereza; n'abanywegera n'abawambaatira. 11#Lub 45:26Isiraeri n'agamba Yusufu nti Nali sirowooza kulaba maaso go: era, laba, Katonda andabisizza n'ezzadde lyo. 12Yusufu n'abaggya mu maviivi ge wakati; n'avuunama amaaso ge. 13Yusufu n'abakwata bombi, Efulayimu n'omukono gwe ogwa ddyo awali omukono ogwa kkono ogwa Isiareri, ne Manase n'omukono gwe ogwa kkono awali omukono ogwa ddyo ogwa Isiraeri, n'abasembeza gy'ali. 14Isiraeri n'agolola omukono gwe ogwa ddyo, n'agussa ku mutwe gwa Efulayimu, ye muto, n'omukono gwe ogwa kkono ku mutwe gwa Manase, ng'atereeza emikono gye ng'amanyi; kubanga Manase ye yali omubereberye. 15#Lub 17:1; 24:40Nasabira Yusufu omukisa n'ayogera nti Katonda wa bajjajja bange Ibulayimu ne Isaaka gwe baatambuliranga mu maaso ge, Katonda eyandiisanga ennaku zange zonna okutuusa leero, 16#2 Sam 4:9, Is 63:9malayika eyannunula mu bubi bwonna, awe omukisa abalenzi; n'erinnya lyange lituumibwenga ku bo, n'erinnya lya bajjajja bange Ibulayimu ne Isaaka; era bafuuke ekibiina ekinene wakati mu nsi. 17#Lub 48:14Yusufu bwe yalaba nga kitaawe assizza omukono gwe ogwa ddyo ku mutwe gwa Efulayimu, n'anyiiga: n'asitula omukono gwa kitaawe okuguggya ku mutwe gwa Efulayimu okugussa ku mutwe gwa Manase. 18Yusufu n'agamba kitaawe nti Nedda, kitange: kubanga oyo ye mubereberye; ssa omukono gwo ogwa ddyo ku mutwe gwe. 19#Kubal 2:19,21, Ma 33:17Kitaawe n'agaana n'ayogera nti Mmanyi, mwana wange, mmanyi: era naye alifuuka ggwanga, era naye aliba mukulu: naye omwana waabo ye alimusinga obukulu, n'ezzadde lye liriba mawanga mangi. 20#Luus 4:11,12N'abasabira omukisa ku lunaku olwo, ng'ayogera nti Mu ggwe Isiraeri anaasabanga omukisa, ng'ayogera nti Katonda akufuule nga Efulayimu ne Manase: Efulayimu n'amusoosa Manase. 21#Lub 46:4Isiraeri n'agamba Yusufu nti Laba, nfa: naye Katonda anaabanga wamu nammwe, alibazza nate mu nsi ya bajjajja bammwe. 22#Yos 24:32Era nkuwadde ggwe omugabo gumu okusinga baganda bo, gwe nnaggya mu mukono gw'omu Amoli n'ekitala kyange n'omutego gwange.

Currently Selected:

Olubereberye 48: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy