YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 47

47
1 # Lub 45:10; 46:31 Yusufu n'alyoka ayingira n'abuulira Falaawo n'ayogera nti Kitange ne baganda bange, endiga zaabwe, n'ente zaabwe ne byonna bye balina, batuuse bavudde mu nsi ya Kanani; era, laba, bali mu nsi y'e Goseni. 2N'alonda ku baganda be abasajja bataano, n'abaleetera Falaawo. 3#Lub 46:33,34Falaawo n'agamba baganda be nti Emirimu gyammwe ki? Ne bagamba Falaawo nti Abaddu bo basumba, ffe era ne bajjajja baffe. 4#Lub 43:1Ne bagamba Falaawo nti Tuzze okutuula mu nsi; kubanga tewali muddo gwa bisibo bya baddu bo; kubanga enjala nnyingi mu nsi ya Kanani: kale nno kaakano, tukwegayiridde, abaddu bo batuule mu nsi y'e Goseni. 5Falaawo n'agamba Yusufu nti Kitaawo ne baganda bo bazze ewuwo: 6ensi y'e Misiri eri mu maaso go; awasinga obulungi mu nsi tuuza awo kitaawo ne baganda bo; batuule mu nsi y'e Goseni: era oba nga omanyi ku bo ab'amagezi, kale bafuule abakulu b'ente zange. 7Yusufu n'ayingiza Yakobo kitaawe, n'amuteeka mu maaso ga Falaawo: Yakobo n'asabira Falaawo omukisa. 8Falaawo n'agamba Yakobo nti Ennaku ez'emyaka egy'obulamu bwo ziri mmeka? 9#Lub 11:32; 25:7; 35:28, Yob 14:1, Zab 39:12; 119:54, Mub 2:23, Beb 11:13Yakobo n'agamba Falaawo nti Ennaku ez'emyaka egy'okutambula kwange ziri myaka kikumi mu asatu: ennaku ez'emyaka egy'obulamu bwange ziri ntono era mbi, so teziwera nnaku za myaka gya bulamu bwa bajjajja bange mu nnaku ez'okutambula kwabwe. 10Yakobo n'asabira Falaawo omukisa, n'ava mu maaso ga Falaawo. 11#Lub 45:10; 47:6, Kuv 1:11; 12:37Yusufu n'atuuza kitaawe ne baganda be, n'abawa obutaka mu nsi y'e Misiri, awasinga obulungi mu nsi, mu nsi ya Lamesesi, nga Falaawo bwe yalagira. 12Yusufu n'aliisa kitaawe ne baganda be n'ekika kyonna ekya kitaawe n'emmere, ng'ennyumba zaabwe bwe zaali.
13Ne wataba mmere mu nsi yonna: kubanga enjala yali nnyingi nnyo, ensi y'e Misiri n'ensi ya Kanani n'okuzirika ne zizirika olw'enjala. 14#Lub 41:56Yusufu n'akuŋŋaanya effeeza yonna eyalabikira mu nsi y'e Misiri ne mu nsi ya Kanani, ng'abaguza eŋŋaano: Yusufu n'aleeta effeeza mu nnyumba ya Falaawo. 15Effeeza yonna bwe yaggwa mu nsi y'e Misiri ne mu nsi ya Kanani, Abamisiri bonna ne bajjira Yusufu ne boogera nti Tuwe emmere: kubanga kyetunaava tufiira mu maaso go kiki? kubanga effeeza etubuze. 16Yusufu n'ayogera nti Muweeyo ensolo zammwe; nange n'abaweeranga ensolo zammwe, effeeza bw'eribabula. 17Ne baleetera Yusufu ensolo zaabwe: Yusufu n'abawaanyisa emmere n'embalaasi n'endiga n'ente n'endogoyi: n'abaliisiza emmere omwaka ogwo ng'abawaanyisiza ensolo zaabwe zonna. 18Omwaka ogwo bwe gwaggwaako, ne bamujjira mu mwaka ogw'okubiri, ne bamugamba nti Tetuukise mukama wange ng'effeeza yaffe yonna yaggwaawo; n'ebisibo by'ensolo bya mukama wange: tewali ekisigaddewo mu maaso ga mukama wange, wabula emibiri gyaffe n'ebyalo byaffe: 19#Nek 5:4,5kyetunaava tufiira mu maaso go kiki, ffe n'ensi yaffe era? tugule ffe n'ensi yaffe n'emmere, naffe n'ensi yaffe tuliba baddu ba Falaawo: tuwe ensigo, tube abalamu tuleme okufa, ensi ereme okuzika. 20Awo Yusufu n'agulira Falaawo ensi yonna ey'e Misiri; kubanga Abamisiri baatunda buli muntu ennimiro ye, kubanga enjala yabayingirira: ensi n'efuuka ya Falaawo. 21N'abantu n'abajjulula n'abassa mu bibuga okuva ku nsalo y'e Misiri weekoma okutuusa ku nkomerero yaayo endala. 22#Ezer 7:24Ensi ya bakabona yokka gy'ataagula: kubanga bakabona baali balina omugabo gwabwe gwe baaweebwanga Falaawo, ne balyanga omugabo gwabwe Falaawo gwe yabawanga; kye baava balema okutunda ensi yaabwe. 23Yusufu n'alyoka agamba abantu nti Laba, ngulidde leero Falaawo mmwe n'ensi yammwe: laba, ensigo zammwe ziizino, munaasiga ensi. 24Era olulituuka bwe munaakungulanga, munaawanga Falaawo ekitundu eky'okutaano, n'ebitundu ebina bye binaabanga ebyammwe, okuba eby'okusiga ennimiro n'okuba emmere yammwe era n'ab'omu nnyumba zammwe n'okuba emmere ey'abaana bammwe abato. 25#Lub 33:15Ne boogera nti Otuwonyezza mu kufa: tulabe ekisa mu maaso ga mukama wange, era tuliba baddu ba Falaawo. 26#Lub 47:22Yusufu n'ateeka etteeka eryo ery'ensi y'e Misiri ne leero, Falaawo okuweebwanga ekitundu eky'okutaano; naye ensi ya bakabona yokka ye etaafuuka ya Falaawo. 27#Lub 26:4, Kuv 1:7, Zab 105:24, Bik 7:17Isiraeri n'atuula mu nsi y'e Misiri, mu nsi y'e Goseni; ne bafunira omwo ebintu, ne baala, ne beeyongera nnyo.
28Yakobo n'amala emyaka kkumi na musanvu mu nsi y'e Misiri: bwe zityo ennaku za Yakobo, emyaka egy'obulamu bwe, zaali myaka kikumi mu ana mu musanvu. 29#Lub 24:2,49; 50:25Ebiro ne bitera okutuuka Isiraeri by'agenda okufiiramu: n'ayita omwana we Yusufu, n'amugamba nti Obanga kaakano ndabye ekisa mu maaso go, nkwegayiridde, teeka omukono gwo wansi w'ekisambi kyange, onkolere eby'ekisa n'eby'amazima; tonziikanga, nkwegayiridde, mu Misiri: 30#Lub 49:29,30, Bik 7:16naye bwe ndyebakira awamu ne bajjajja bange, onsitule onziye mu Misiri, onziike mu kifo kyabwe eky'okuziikangamu. N'ayogera nti Ndikola nga bw'oyogedde. 31#Lub 48:2, 1 Bassek 1:47, Beb 11:21N'ayogera nti Ndayirira: n'amulayirira. Isiraeri n'avuunama emitwetwe.

Currently Selected:

Olubereberye 47: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy