YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 42

42
1 # Bik 7:12 Era Yakobo n'alaba nga mu Misiri eŋŋaano mweri, Yakobo n'agamba abaana be nti Kiki ekibatunuulizaganya mwekka na mwekka? 2#Lub 43:8, Zab 33:18,19N'ayogera nti Laba, mpulidde nga mu Misiri eŋŋaano mweri: muserengete, mugendeyo, mutugulire eyo; tubeere abalamu, tuleme okufa. 3Ne baganda ba Yusufu ekkumi ne baserengeta okugula eŋŋaano mu Misiri. 4#Lub 35:18; 42:38Naye Benyamini, muganda wa Yusufu, Yakobo n'atamutuma wamu ne baganda be; kubanga yayogera nti Mpozzi akabi kaleme okumubaako. 5N'abaana ba Isiraeri ne bajja okugula mu abo abajja: kubanga enjala yali mu nsi ya Kanani. 6#Lub 37:7,9; 41:41Era Yusufu ye yali omukulu w'ensi; oyo ye yaguzanga abantu bonna ab'omu nsi: baganda ba Yusufu ne bajja, ne bamuvuunamira nga bawunzise amaaso wansi. 7Yusufu n'alaba baganda be, n'abekkaanya, naye ne yeefuula nga munnaggwanga gye bali, n'ayogera nabo n'ebboggo; n'abagamba nti Muva wa? Ne boogera nti Mu nsi ya Kanani okugula emmere. 8Yusufu ne yekkaanya baganda be, naye bo ne batamwekkaanya. 9#Lub 37:5,9Yusufu n'ajjukira ebirooto bye yaloota ku bo, n'abagamba nti Muli bakessi; muzze okulaba ensi bw'eteriimu. 10Ne bamugamba nti Nedda, mukama wange, naye abaddu bo bazze okugula emmere. 11Fenna tuli baana b'omu; tuli ba mazima, abaddu bo si bakessi n'akatono. 12N'abagamba nti Nedda, naye muzze okulaba ensi bw'eteriimu. 13#Lub 37:30Ne boogera nti Ffe abaddu bo tuli ba luganda kkumi na babiri, abaana b'omu nsi ya Kanani; era, laba, omwana wa boffe ali wamu ne kitaffe leero, n'omu taliiwo. 14Yusufu n'abagamba nti Kye kiikyo kye mbagambye nti Muli bakessi: 15bwe mulikemebwa bwe muti: ndayidde obulamu bwa Falaawo, temugenda kuva wano, wabula omwana wa bommwe ng'azze wano. 16Mutume munnammwe omu, akime muganda wammwe, nammwe munaasibibwa, ebigambo byammwe bikemebwe, oba nga amazima mwegali mu mmwe: oba bwe mutaakole bwe mutyo, ndayidde obulamu bwa Falaawo, mazima muli bakessi. 17N'abateeka bonna wamu mu kkomera ennaku ssatu. 18#Leev 25:43, Nek 5:15Yusufu n'abagamba ku lunaku olw'okusatu nti Mukole bwe muti, mubeere abalamu; kubanga ntya Katonda: 19oba nga muli ba mazima, omu ku baganda bammwe asibibwe mu nnyumba ey'ekkomera lyammwe; naye mmwe mugende, mutwale eŋŋaano olw'enjala ey'omu nnyumba zammwe; 20era mundeetere omwana wa bommwe; ebigambo byammwe bwe biritegeezebwa nga bya mazima bwe bityo, nammwe temulifa. Ne bakola bwe batyo. 21#Lub 37:23-28, Yob 36:8,9Ne bagambagana nti Mazima tuliko omusango olwa muganda waffe, kubanga twalaba emmeeme ye bwe yanakuwala, bwe yatwegayirira, naffe ne tugaana okuwulira; ennaku zino kye zivudde zitutuukako. 22#Lub 9:5; 37:21,22, 2 Byom 24:22, Zab 9:12, Luk 11:50,51Lewubeeni n'abaddamu ng'ayogera nti Saababuulira nti Temusobya ku mwana; nammwe ne mugaana okuwulira? era omusaayi gwe kyeguva gutuvunaanyizibwa. 23Ne batamanya nga Yusufu ategedde ebigambo byabwe; kubanga omutegeeza yabanga wakati we nabo. 24N'abakuba enkoona, n'akaaba amaziga; n'addayo gye bali, n'ayogera nabo, n'abaggyamu Simyoni, n'amusibira mu maaso gaabwe. 25#Bar 12:17,20Awo Yusufu n'alagira okujjuza ebintu byabwe eŋŋaano, n'okuddiza buli muntu effeeza ye mu nsawo ye, n'okubawa entanda ey'omu kkubo: ne babakolera bwe batyo. 26Ne bateeka eŋŋaano yaabwe ku ndogoyi zaabwe, ne bagenda ne bavaayo. 27Munnaabwe omu bwe yasumulula ensawo ye okuliisa endogoyi ye mu kifo kye baasulamu, n'alaba effeeza ye; era, laba yali mu kamwa k'ensawo ye. 28N'agamba baganda be nti Effeeza yange enkomezebbwawo; era, laba, eri mu nsawo yange; omwoyo gwabwe ne gubatyemuka, ne bakyukiragana nga bakankana nga boogera nti Kino kiki Katonda ky'atukoze? 29Ne bajjira Yakobo kitaabwe mu nsi ya Kanani, ne bamubuulira byonna ebyababaako; nga boogera nti 30#Lub 42:7,9Omusajja, omukulu w'ensi, yayogera naffe n'ebboggo, n'atulowooza ng'abakessi b'ensi. 31Ne tumugamba nti Tuli ba mazima; tetuli bakessi: 32tuli ba luganda kkumi na babiri, abaana ba kitaffe; omu taliiwo, n'omwana wa boffe ali wamu ne kitaffe leero mu nsi ya Kanani. 33#Lub 42:15,19,20Omusajja, omukulu w'ensi, n'atugamba nti Bwe nti bwe nditegeera nga muli basajja ba mazima: muleke wamu nange omu ku baganda bammwe, mutwale eŋŋaano olw'enjala ey'omu nnyumba zammwe, mwegendere: 34#Lub 34:10mundeetere omwana wa bommwe: awo nnaategeera nga temuli bakessi n'akatono, naye nga muli basajja ba mazima: bwe ntyo ndibawa muganda wammwe, nammwe munaagulanga mu nsi. 35#Lub 42:27, Lub 42:37Awo olwatuuka bwe baggya ebintu mu nsawo zaabwe, laba, omutwalo gw'effeeza ogwa buli muntu gwali mu nsawo ye: bo ne kitaabwe bwe baalaba emitwalo gyabwe egy'effeeza, ne batya. 36Yakobo kitaabwe n'abagamba nti Nze munziyeeko abaana bange: Yusufu taliiwo, era ne Simyoni taliiwo, era mwagala okunziyaako ne Benyamini: ebyo byonna binzitoowerera. 37#Lub 46:9Lewubeeni n'agamba kitaawe nti Obattanga batabani bange bombi, bwe sirimukomyawo gy'oli: mumpe mu mukono gwange, nange ndimukomyawo gy'oli nate. 38#Lub 37:33,35; 42:4N'ayogera nti Omwana wange taliserengeta nammwe; kubanga muganda we yafa, naye asigaddewo yekka: akabi bwe kalimubaako mu kkubo lye muliyitamu, muliserengesa envi zange mu magombe olw'okunakuwala.

Currently Selected:

Olubereberye 42: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy