YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 41

41
1Awo olwatuuka emyaka ebiri emirambirira bwe gyayitawo, Falaawo n'aloota: era, laba, yali ayimiridde ku mugga. 2Era, laba, ne muva mu mugga ente musanvu ennungi eza ssava; ne ziriira mu lusa. 3Era, laba, ente endala omusanvu ne ziziddirira ne ziva mu mugga, embi enkovvu; ne ziyimirira ku mabbali g'omugga awali ente endala. 4N'ente embi enkovvu ne zirya ente omusanvu ennungi eza ssava. Kale Falaawo n'azuukuka. 5Ne yeebaka n'aloota omulundi ogw'okubiri: era, laba, ebirimba by'eŋŋaano musanvu ne bimera ku kiti kimu, ebigimu ebirungi. 6#Ez 17:10Era, laba, ebirimba musanvu ebitono ebikaze n'empewo ez'ebuvanjuba ne bibiddirira ne bimera. 7Ebirimba ebitono ne bimira ebirimba omusanvu ebigimu ebinene. Falaawo n'azuukuka, era, laba, kibadde kirooto. 8#Kuv 7:11,22, Dan 2:1,3Awo olwatuuka enkya omwoyo gwe ne gweraliikirira: n'atuma n'ayita abasawo bonna ab'omu Misiri, n'abagezigezi bonna abaamu: Falaawo n'ababuulira ekirooto kye; naye tewaali ayinza okutegeeza Falaawo amakulu gaabyo. 9Omusenero omukulu n'alyoka agamba Falaawo nti Njijukidde leero okwonoona kwange: 10#Lub 40:2,3Falaawo yasunguwalira abaddu be, n'abasibira mu nnyumba ey'omukulu w'abambowa, nze n'omufumbiro omukulu: 11#Lub 40:5ne tuloota ekirooto mu kiro kimu nze naye; twaloota buli muntu ng'amakulu g'ekirooto kye bwe gali. 12#Lub 40:12-19Era yaliyo wamu naffe omulenzi, Omwebbulaniya, omuddu ow'omukulu w'abambowa; ne tumubuulira, n'atutegeeza amakulu g'ebirooto byaffe; yategeeza buli muntu ng'ekirooto kye bwe kyali. 13#Lub 40:21,22Awo olwatuuka, nga bwe yatutegeeza, ne kiba bwe kityo; nze yanziza mu bwami, n'oyo yamuwanika. 14#1 Sam 2:8, Zab 105:20; 113:7,8, Dan 2:25Falaawo n'alyoka atuma n'ayita Yusufu, ne bamuggya mangu mu kkomera: n'amwa, n'awaanyisa ebyambalo bye, n'ayingira eri Falaawo. 15#Dan 5:16Falaawo n'agamba Yusufu nti Naloota ekirooto, so siwali ayinza okutegeeza amakulu gaakyo: era mpulidde nga boogera ku ggwe ng'oyinza okutegeeza amakulu g'ekirooto bw'okiwulira. 16#Dan 2:28,30Yusufu n'addamu Falaawo, ng'ayogera nti Si mu nze: Katonda y'anaawa Falaawo okuddamu okw'emirembe. 17#Lub 41:1-8Falaawo n'agamba Yusufu nti Mu kirooto kyange, laba, nga nnyimiridde ku mabbali g'omugga: 18era, laba, ne muva mu mugga ente musanvu, eza ssava ennungi; ne ziriira mu lusa: 19era, laba, ente musanvu endala ne ziziddirira ne zirinnya, ennafu embi ennyo enkovvu, ze ssirabangako mu nsi yonna ey'e Misiri obubi: 20ente enkovvu embi ne zirya ente omusanvu eza ssava ezisoose: 21awo bwe zaamala okuzirya ne kitategeerekeka nga ziziridde; naye nga zikyali mbi ng'olubereberye. Awo ne nzuukuka. 22Ne ndabira mu kirooto kyange, era, laba, ebirimba musanvu ne bimera ku kiti kimu, ebinene ebirungi: 23era, laba, ebirimba musanvu, ebiwotose, ebitono, ebikaze n'empewo ez'ebuvanjuba, ne bibiddirira ne bimera: 24ebirimba ebitono ne bimira ebirimba ebirungi omusanvu: ne nkibuulira abasawo; naye siwali ayinza okukintegeeza. 25#Dan 2:28,29,45Yusufu n'agamba Falaawo nti Ekirooto kya Falaawo kiri kimu: Katonda by'agenda okukola, yabibuulira Falaawo. 26Ente omusanvu ennungi gye myaka omusanvu; n'ebirimba omusanvu ebirungi gye myaka omusanvu: ekirooto kiri kimu. 27#2 Bassek 8:1N'ente omusanvu enkovvu embi ezaaziddirira gye myaka omusanvu, era n'ebirimba omusanvu ebitaliimu ebikaze n'empewo ez'ebuvanjuba; egyo giriba myaka omusanvu egy'enjala. 28Ekyo kye kigambo kye mbuulidde Falaawo: Katonda by'agenda okukola, yabiraga Falaawo. 29Laba, girijja emyaka musanvu egy'ekyengera ekingi mu nsi yonna ey'e Misiri: 30#Lub 45:6; 47:13oluvannyuma lw'egyo giribaawo emyaka musanvu egy'enjala; n'ekyengera kyonna kiryerabirwa mu nsi ey'e Misiri; n'enjala erizikiriza ensi; 31n'ekyengera tekirimanyibwa mu nsi olw'enjala erikiddirira; kubanga eriba nnyingi nnyo. 32#Kubal 23:19, Is 14:24Era kubanga ekirooto kyayongererwa Falaawo emirundi ebiri, kyekyava kyongerwa kubanga ekigambo kinywezebwa Katonda, era Katonda alikituukiriza mangu. 33Kale nno kaakano Falaawo anoonye omusajja omukabakaba ow'amagezi, amuwe okufuga ensi ey'e Misiri. 34Falaawo akole bw'atyo, era asseewo abalabirizi ku nsi, atereke ekitundu eky'ekkumi eky'ensi ey'e Misiri mu myaka omusanvu egy'ekyengera. 35Era bakuŋŋaanye emmere yonna ey'emyaka gino emirungi egijja, baterekere eŋŋaano mu bibuga mu mukono gwa Falaawo, bagikuume. 36N'emmere eyo eriba eggwanika ery'ensi olw'emyaka omusanvu egy'enjala, egiribaawo mu nsi ey'e Misiri; ensi ereme okufa enjala. 37N'ekigambo ekyo kyali kirungi mu maaso ga Falaawo, ne mu maaso g'abaddu be bonna. 38#Kubal 27:18, Dan 4:8; 5:11Falaawo n'agamba abaddu be nti Tuliyinza okulaba omusajja afaanana ng'oyo, omusajja omuli omwoyo gwa Katonda? 39Falaawo n'agamba Yusufu nti Kubanga Katonda akulaze ebyo byonna, tewali mukabakaba era ow'amagezi nga ggwe: 40#Zab 105:21, Bik 7:10gw'olifuga ennyumba yange, era ng'ekigambo kyo bwe kiri abantu bange bonna banaafugibwanga: naye kyokka mu ntebe yange nze naakusinganga ggwe obukulu. 41#Lub 42:6, Mub 4:13,14Falaawo n'agamba Yusufu nti Laba, nkuwadde okufuga ensi yonna ey'e Misiri. 42#Es 3:10; 8:2,15, Dan 5:29Falaawo ne yeenaanula empeta ye ey'akabonero ku ngalo ye, n'anaanika Yusufu ku ngalo ye, n'amwambaza ebyambalo ebya bafuta ennungi, n'ateeka omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe. 43N'amutambuliza mu ggaali ery'okubiri lye yalina; ne balangira mu maaso ge nti Mufukamire: n'amuwa okufuga ensi yonna ey'e Misiri. 44Falaawo n'agamba Yusufu nti Nze ndi Falaawo, era awatali nze tewali muntu aligolola omukono gwe newakubadde ekigere kye mu nsi yonna ey'e Misiri. 45Falaawo n'atuuma Yusufu erinnya Zafenasipaneya; n'amuwa Asenaasi omwana wa Potiferi kabona ow'e Oni okumuwasa. Yusufu n'atambula n'abunya ensi ey'e Misiri. 46#1 Sam 16:21, 1 Bassek 12:6,8, Dan 1:19Era Yusufu yali yaakamaze emyaka asatu bwe yayimirira mu maaso ga Falaawo kabaka w'e Misiri. Yusufu n'ava eri Falaawo, n'atambula n'abunya ensi ey'e Misiri. 47Ne mu myaka omusanvu egy'ekyengera ensi n'ebala emmere mu bungi. 48N'akuŋŋaanyanga emmere yonna ey'emyaka omusanvu egyabaawo mu nsi ey'e Misiri, n'aterekeranga emmere mu bibuga: emmere ey'omu nnimiro ezaali zeetoolodde buli kibuga, yagiterekeranga mu ekyo. 49#Yos 11:4, Balam 7:12, 1 Sam 13:5, Zab 78:27Yusufu n'atereka eŋŋaano ng'omusenyu ogw'ennyanja, nnyingi nnyo, okutuusa lwe yaleka okubala; kubanga teyabalikika. 50#Lub 46:20; 48:5Abaana babiri ne bazaalirwa Yusufu omwaka ogw'enjala nga tegunnatuuka, Asenaasi omwana wa Potiferi kabona ow'e Oni be yamuzaalira. 51Yusufu n'atuuma omubereberye erinnya Manase: nti Kubanga Katonda anneerabizza okutegana kwange n'ennyumba ya kitange yonna. 52N'ow'okubiri n'amutuuma erinnya Efulayimu: nti Kubanga Katonda yanjaliza mu nsi ey'okubonaabona kwange. 53Emyaka omusanvu egy'ekyengera egyabaawo mu nsi ey'e Misiri ne giggwaako. 54#Zab 105:16, Bik 7:11Emyaka omusanvu egy'enjala ne gitanula okujja, nga Yusufu bwe yayogera; enjala n'egwa mu nsi zonna; naye mu nsi yonna ey'e Misiri emmere nga mweri. 55Era ensi yonna ey'e Misiri bwe yalumwa enjala, abantu ne bakaabira Falaawo olw'emmere: Falaawo n'agamba Abamisiri bonna nti Mugendenga eri Yusufu; by'anaabagambanga mukolenga bwe mutyo. 56#Lub 42:6; 47:14,20,24Enjala n'ebuna ensi zonna: Yusufu n'aggulawo amawanika gonna, n'aguzanga Abamisiri; enjala n'eba nnyingi mu nsi ey'e Misiri. 57#Lub 41:54,56N'ab'ensi zonna ne bajjira Yusufu mu Misiri okugula eŋŋaano; kubanga enjala yali nnyingi mu nsi zonna.

Currently Selected:

Olubereberye 41: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy