YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 34

34
1 # Lub 30:21 Dina omwana wa Leeya, gwe yazaalira Yakobo, n'afuluma n'agenda okulaba abawala ab'omu nsi. 2Sekemu omwana wa Kamoli Omukiivi, omukulu w'ensi, n'amulaba; n'amutwala, n'asula naye, n'amwata. 3#Is 40:2, Kos 2:14N'obulamu bwe ne bwegatta ne Dina omwana wa Yakobo, n'ayagala omuwala oyo, n'ayogera n'omuwala n'ekisa. 4#Balam 14:2Sekemu n'agamba kitaawe Kamoli nti Mpasiza omuwala oyo. 5Yakobo n'awulira nga yagwagwawaza Dina omwana we; n'abaana be baali n'ensolo ze mu ddundiro: Yakobo n'asirika okutuusa lwe badda. 6Kamoli kitaawe wa Sekemu n'afuluma eri Yakobo okuteesa naye. 7#Lub 20:9; 49:7, Yos 7:15, Balam 20:6, 2 Sam 13:12,21Abaana ba Yakobo ne bava mu ddundiro ne bayingira bwe baakiwulira: abasajja ne banakuwala, ne basunguwala nnyo, kubanga yali akoze eky'omuzizo mu Isiraeri bwe yasula n'omwana wa Yakobo; ekitagwanira kukola. 8Kamoli n'ateesa nabo ng'ayogera nti Obulamu bw'omwana wange Sekemu bulumirwa omuwala wammwe: mbeegayirira mumumuwe okumuwasa. 9#Lub 24:3; 28:1,2Era mufumbiriganwenga naffe: mutuwenga ffe abawala bammwe, era muwasenga mmwe abawala baffe. 10#Lub 20:15; 42:34; 30:21; 49:5-7Era munaatuulanga wamu naffe: n'ensi eneebanga mu maaso gammwe; mutuulenga omwo mugulenga mwefunirenga ebintu omwo. 11#Lub 32:5Sekemu n'agamba kitaawe ne baganda be nti Ndabe ekisa mu maaso gammwe, era kye munansalira kye nnaabawa. 12#Kuv 22:16,17, Ma 22:29Ebyobuko n'ekirabo bye munansaba bwe binenkana wonna, nange naabawa bwe ntyo nga bwe munaŋŋamba: naye mumpe omuwala okumuwasa. 13Abaana ba Yakobo ne baddamu Sekemu ne Kamoli kitaawe nga bakuusa ne boogera, kubanga yali agwagwawazizza Dina mwannyinaabwe, 14#Yos 5:2,9ne babagamba nti Tetuyinza kukola kino, okumuwa mwannyinaffe atali mukomole; kubanga ekyo kyandibadde nsonyi gye tuli: 15endagaano eno yokka ye ejja okubatukkirizisa: bwe munakkiriza okuba nga ffe, buli musajja mummwe okukomolebwanga; 16ne tulyoka tubawanga abawala baffe, naffe tunaawasanga abawala bammwe, naffe tunaatuulanga wamu nammwe, era tulifuuka ggwanga limu. 17Naye bwe mutaatuwulire, okukomolebwa; olwo tunaatwala omuwala waffe, ne tugenda. 18Ebigambo byabwe ne bisanyusa Kamoli, ne Sekemu omwana wa Kamoli. 19Omuvubuka n'atalwawo kukola ekyo, kubanga yasanyukira omuwala wa Yakobo: era yalina ekitiibwa okusinga ennyumba yonna eya kitaawe. 20#Luus 4:1, 2 Sam 15:2Kamoli ne Sekemu omwana we ne bajja mu wankaaki w'ekibuga kyabwe, ne bateesa n'abasajja ab'omu kibuga kyabwe, nga boogera 21nti Abasajja abo tebaagala kulwana naffe; kale batuulenga mu nsi bagulenga omwo; kubanga, laba, ensi ngazi, eribamala; ffe tuwasenga abawala baabwe, era tubawenga bo abawala baffe, 22Endagaano eno yokka ye ejja okubakkirizisa abasajja abo ffe okutuula nabo, okufuuka eggwanga erimu, buli musajja muffe bw'alikomolebwa, nga bo bwe bakomolebwa. 23Ente zaabwe n'ebintu byabwe n'ensolo zaabwe zonna tebiriba byaffe? naye kyokka tubakkirize, nabo banaatuulanga naffe. 24#Lub 23:10Ne Kamoli ne Sekemu omwana we bonna abaavanga mu wankaaki w'ekibuga kye ne babawulira; buli musajja n'akomolebwa, buli eyavanga mu wankaaki w'ekibuga. 25#Lub 29:33,34; 30:21; 49:5-7Awo olwatuuka ku lunaku olw'okusatu, bwe baali nga balumwa, abaana ba Yakobo ababiri, Simyoni ne Leevi, bannyina Dina, ne baddira buli muntu ekitala kye, ne bazinduukiriza ekibuga, ne batta abasajja bonna. 26Ne batta Kamoli ne Sekemu omwana we n'ekitala, ne baggya Dina mu nnyumba ya Sekemu, ne bavaayo. 27Abaana ba Yakobo ne babasanga nga babasse, ne banyaga ekibuga, kubanga baagwagwawaza mwannyinaabwe. 28Baanyaga endiga zaabwe n'embuzi zaabwe n'endogoyi zaabwe, n'ebyo ebyali mu kibuga, n'ebyo ebyali mu nnimiro: 29n'obugagga bwabwe bwonna, n'abaana baabwe bonna abato n'abakazi baabwe, ne babasiba ne babanyaga, byonna ddala ebyali mu nnyumba. 30#Lub 13:7, Kuv 5:21, Yos 7:25, 1 Sam 13:4, 2 Sam 10:6, Zab 105:12Yakobo n'agamba Simyoni ne Leevi nti Munneeraliikirizza, okumpunyisa mu abo abatuula mu nsi, mu Bakanani ne mu Baperizi: nange, kubanga omuwendo gwange mutono, balikuŋŋaana bonna okunnumba, balinkuba: nange ndizikirizibwa, nze n'ennyumba yange. 31Ne boogera nti Kirungi akole mwannyinaffe ng'omwenzi?

Currently Selected:

Olubereberye 34: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy