YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 32

32
1Yakobo ne yeegendera, ne bamalayika ba Katonda ne bamusisinkana. 2#Yos 5:14, Zab 103:21, Luk 2:13Yakobo bwe yabalaba n'ayogera nti Lino lye ggye lya Katonda: n'atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Makanayimu.
3 # Lub 36:8,9, Ma 2:4,5 Yakobo n'atuma ababaka okumukulembera eri Esawu muganda we mu nsi ya Seyiri, ye nnimiro ya Edomu. 4N'abalagira ng'ayogera nti Bwe muti bwe muligamba mukama wange Esawu; nti Bw'ati bw'ayogera omuddu wo Yakobo nti Natuulanga ne Labbaani, ne mbeerayo okutuusa kaakano: 5#Lub 33:8,15era nnina ente n'endogoyi n'ebisibo, n'abaddu n'abazaana: era ntumye okubuulira mukama wange, ndabe ekisa mu maaso go. 6#Lub 33:1Ababaka ne bakomawo eri Yakobo nga boogera nti Twatuuka eri muganda wo Esawu, era ajja okukusisinkana, n'abasajja bina wamu naye. 7Yakobo n'alyoka atya nnyo ne yeeraliikirira: n'ayawulamu abantu abaali naye, n'ebisibo, n'ente, n'eŋŋamira, okuba ebibiina bibiri; 8n'ayogera nti Esawu bw'anaatuukira ku kibiina ekimu n'akikuba, ekibiina ekinaasigalawo kinaawona. 9#Lub 28:13; 31:3Yakobo n'ayogera nti Ai Katonda wa jjajja wange Ibulayimu, era Katonda wa kitange Isaaka, ai Mukama, eyaŋŋamba nti Ddayo mu nsi y'ewammwe era eri baganda bo, nange naakukolanga bulungi: 10#2 Sam 7:18sisaanira (newakubadde) akatono mu kusaasira kwonna, n'amazima gonna, bye wagiriranga omuddu wo; kubanga nawunguka Yoludaani guno nga nnina muggo gwokka; ne kaakano nfuuse ebibiina bibiri. 11#Nge 18:19Nkwegayirira, mponya mu mukono gwa muganda wange, mu mukono gwa Esawu: kubanga mmutya, aleme okujja okunzita, ne bannyaabwe n'abaana baabwe. 12#Lub 28:13-15Naawe wayogera nti Siiremenga kukukola bulungi, era naafuulanga ezzadde lyo ng'omusenyu ogw'oku nnyanja, ogutabalika olw'obungi. 13#Lub 43:11N'asula awo ekiro ekyo: n'atoola ku ebyo bye yali nabyo okuba ekirabo kya Esawu muganda we; 14embuzi enkazi bibiri n'ennume abiri, endiga enkazi bibiri n'ennume abiri, 15eŋŋamira eziramulwa asatu n'abaana baazo, ente enkazi ana n'eza seddume kkumi, endogoyi enkazi abiri n'abaana baazo kkumi. 16N'abiwa mu mukono gw'abbadu be, buli kisibo kyokka; n'agamba abaddu be nti Munkulembere musomoke, musseewo ebbanga wakati w'ekisibo n'ekisibo. 17N'alagira eyakulembera ng'ayogera nti Esawu muganda wange bw'anaakusisinkana, n'akubuuza nti Oli w'ani? era ogenda wa? n'ebyo ebiri mu maaso go by'ani? 18n'olyoka ogamba nti Bya muddu wo Yakobo; kye kirabo ekiweerezebbwa mukama wange Esawu; era, laba, naye ali nnyuma waffe. 19Era n'alagira n'ow'okubiri n'ow'okusatu ne bonna abaagoba ebisibo, ng'ayogera nti Bwe muti bwe munaagamba Esawu, bwe munaamulaba. 20Era munaayogera nti Era, laba, omuddu wo Yakobo ali nnyuma waffe. Kubanga yayogera nti Naamuwooyawooya n'ekirabo ekinankulembera ne ndyoka mmulaba amaaso ge; mpozzi anannyaniriza. 21Awo ekirabo ne kimukulembera ne kisomoka: naye ye yennyini n'asula ekiro ekyo wamu n'ekibiina.
22N'agolokoka ekiro ekyo, n'addira bakazi be bombi, n'abazaana be bombi, n'abaana be ekkumi n'omu, n'asomokera mu musomoko gw'e Yaboki. 23N'abatwala, n'abasomosa omugga, n'asomosa byonna bye yalina. 24Yakobo n'asigalayo yekka; omusajja n'ameggana naye okutuusa emmambya bwe yasala. 25Era bwe yalaba nga tajja kumumegga, n'akoma ku mbalakaso ye; embalakaso ya Yakobo ne yeereega, ng'ameggana naye. 26#Luk 18:1N'ayogera nti Nta, kubanga emmambya esala. N'ayogera nti Sijja kukuta, wabula ng'ompadde omukisa. 27N'amugamba nti Erinnya lyo ggwe ani? N'ayogera nti Yakobo. 28#Lub 35:10, Kos 12:3,4N'ayogera nti Erinnya lyo terikyayitibwanga Yakobo, wabula Isiraeri: kubanga owakanye ne Katonda era n'abantu, era osinze. 29#Balam 13:18Yakobo n'amubuuza n'ayogera nti Nkwegayiridde, mbuulira erinnya lyo. N'ayogera nti Kiki ekikumbuuzisa erinnya lyange? N'amuweera eyo omukisa. 30#Lub 16:13, Kuv 24:10,11, Balam 6:22; 13:22, Is 6:5Yakobo n'atuuma ekifo erinnya lyakyo Penieri: kubanga ndabaganye ne Katonda mu maaso, n'obulamu bwange buwonye. 31Enjuba n'evaayo n'emwakako ng'avvuunuka Penueri, n'awenyera olw'ekisambi kye. 32Abaana ba Isiraeri kyebava balema okulya ekinywa ky'ekisambi ekiri ku mbalakaso, okutuusa leero: kubanga yakoma ku mbalakaso ya Yakobo mu kinywa ky'ekisambi.

Currently Selected:

Olubereberye 32: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy