YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 28

28
1 # Lub 24:3-6 Isaaka n'ayita Yakobo, n'amusabira omukisa, n'amukuutira, n'amugamba nti Towasanga mukazi ku bawala ba Kanani. 2#Lub 25:20Golokoka, ogende e Padanalaamu, eri ennyumba ya Bessweri kitaawe wa nnyoko; weewasize omukazi alivaayo ku bawala ba Labbaani mwannyina wa nnyoko. 3#Lub 17:1,6Era Katonda Omuyinza w'ebintu byonna akwongerenga, ofuuke ekibiina ky'amawanga; 4#Lub 12:2,3; 17:8era akuwe omukisa gwa Ibulayimu, ggwe n'ezzadde lyo awamu naawe; osikire ensi gye watambuliramu, Katonda gye yawa Ibulayimu. 5#Kos 12:12Isaaka n'asindika Yakobo: n'agenda e Padanalaamu eri Labbaani, omwana wa Bessweri Omusuuli, mwannyina Lebbeeka, nnyina wa Yakobo ne Esawu. 6Era Esawu n'alaba nga Isaaka yasabira Yakobo omukisa n'amusindika okugenda e Padanalaamu, okwewasizaayo omukazi; era bwe yamusabira omukisa n'amukuutira ng'ayogera nti Towasanga mukazi ku bawala ba Kanani; 7era nga Yakobo n'awulira kitaawe ne nnyina, era ng'agenze e Padanalaamu: 8#Lub 26:35Esawu n'alaba ng'abawala ba Kanani tebaasanyusa Isaaka kitaawe; 9#Lub 25:13; 36:3Esawu n'agenda eri Isimaeri, n'awasa wamu n'abakazi be yalina Makalasi muwala wa Isimaeri omwana wa Ibulayimu, mwannyina Nebayoosi, okuba mukazi we.
10 # Lub 26:33; 27:43 Yakobo n'ava mu Beeruseba n'agenda eri Kalani. 11N'atuuka mu kifo, n'asulawo n'akeesa obudde, kubanga enjuba yali egudde; n'atwala erimu ku mayinja ag'omu kifo, n'alyezizika wansi w'omutwe gwe, n'agalamira mu kifo ekyo okwebaka. 12#Yob 33:15,16, Yok 1:51N'aloota ekirooto, era, laba amadaala agaasimbibwa ku ttaka, n'entikko yaago ng'etuuse mu ggulu: era laba bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakka ku go. 13#Lub 13:15; 26:24; 35:1; 48:3Era, laba, Mukama ng'ayimiridde waggulu waago, n'ayogera nti Nze Mukama, Katonda wa Ibulayimu jjajjaawo, era Katonda wa Isaaka: ensi gy'ogalamiddeko, ndigikuwa ggwe n'ezzadde lyo; 14#Lub 12:3; 13:16n'ezzadde lyo linaabanga ng'enfuufu ey'oku nsi, era olibuna ebugwanjuba, n'ebuvanjuba, n'obukiika obwa kkono, n'obwa ddyo: ne mu ggwe ne mu zzadde lyo ebika byonna eby'omu nsi mwe biriweerwa omukisa. 15#Lub 26:24; 31:3; 35:6Era, laba, nze ndi wamu naawe, era naakukuumanga gy'onoogendanga yonna, era ndikukomyawo mu nsi eno; kubanga sirikuleka okutuusa lwe ndimala okukola bye nkugambyeko. 16Yakobo n'azuukuka mu tulo, n'ayogera nti Mazima Mukama ali mu kifo kino; nange mbadde simanyi. 17N'atya, n'ayogera nti Ekifo kino nga kya ntiisa! (ekifo) kino ye nnyumba ya Katonda ddala mazima, era gwe mulyango gw'eggulu. 18#Lub 31:13,45; 35:14, 1 Sam 7:12Yakobo n'agolokoka enkya mu makya, n'addira ejjinja lye yeezizise wansi w'omutwe gwe, n'alisimba okuba empagi, n'alifukako amafuta ku ntikko yaalyo. 19#Lub 35:7, Balam 1:23N'atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Beseri: naye erinnya ly'ekibuga olubereberye lyali Luzi. 20#Lub 31:13Yakobo ne yeeyama obweyamo, ng'ayogera nti Katonda bw'anaabanga awamu nange era bw'anankuumiranga mu kkubo lino lye ŋŋendamu, era bw'anampanga emmere ey'okulya, n'engoye ez'okwambala, 21#Ma 26:17, Balam 11:31, 2 Sam 15:8n'okudda ne nzira mu nnyumba ya kitange n'emirembe, Mukama n'alyoka abeera Katonda wange, 22#Lub 14:20; 35:7,14, Leev 27:30n'ejjinja lino, lye nsimbye okuba empagi, liriba ennyumba ya Katonda: era ku byonna by'onompanga siiremenga kukuwa ggwe ekitundu eky'ekkumi.

Currently Selected:

Olubereberye 28: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy