YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 24

24
1 # Lub 24:35 Ibulayimu yali akaddiye, ng'ayitiridde obukadde: era Mukama yawanga Ibulayimu omukisa mu bigambo byonna. 2#Lub 15:2; 24:9,10; 47:29Ibulayimu n'agamba omuddu we, omukulu w'ennyumba ye, eyafuganga byonna bye yalina, nti Nkwegayiridde, ssa omukono gwo wansi w'ekisambi kyange: 3#Kuv 34:16, Ma 7:3, 2 Kol 6:14nange naakulayiza Mukama, Katonda w'eggulu era Katonda w'ensi, nga toliwasiza mwana wange mukazi aliva mu bawala aba Bakanani, be ntuulamu: 4#Lub 11:31naye oligenda mu nsi yange, era eri baganda bange, omuwasize omwana wange Isaaka omukazi. 5Omuddu n'amugamba nti Mpozzi omukazi talikkiriza kujja nange okutuuka mu nsi eno: kiriŋŋwanira okuzza omwana wo mu nsi gye wavaamu? 6Ibulayimu n'amugamba nti Tozzangayo mwana wange n'akatono. 7#Lub 12:1,7, Kuv 23:20Mukama, Katonda w'eggulu, eyanziya mu nnyumba ya kitange, ne mu nsi mwe nnazaalirwa, era eyayogera nange, nandayirira, ng'agamba nti Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno; oyo alituma malayika we okukukulembera, naawe oliwasiza omwana wange omukazi aliva eyo. 8#Yos 2:17-20N'omukazi bw'aliba nga takkirizza kujja naawe, kale nga toliiko musango olw'ekirayiro kyange kino; kino kyokka, obutamuzzaayo mwana wange. 9#Lub 24:2Omuddu n'assa omukono gwe wansi w'ekisambi kya Ibulayimu mukama we, n'amulayirira mu kigambo ekyo. 10#Lub 27:43Omuddu n'atwala eŋŋamira kkumi, ez'omu ŋŋamira za mukama we, ne yeegendera; ng'alina ebintu byonna ebirungi ebya mukama we mu ngalo ze: n'agolokoka, n'agenda mu Mesopotamiya, mu kibuga kya Nakoli. 11#Kuv 2:16N'afukamiza eŋŋamira ebweru w'ekibuga awali oluzzi lw'amazzi obudde nga buwungeera, obudde nga butuuse abakazi we baafulumiranga okusena amazzi. 12#Lub 24:27,42,48; 27:20N'ayogera nti Ai Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, ompe, nkwegayiridde, omukisa leero, olage ekisa mukama wange Ibulayimu. 13Laba, nnyimiridde ku nsulo z'amazzi; n'abaana abawala b'ab'omu kibuga bafuluma okusena amazzi: 14#Lub 25:8, Balam 6:17-22kale kibeere bwe kiti; omuwala gwe nnaagamba nti Sena ensuwa yo, nkwegayiridde, nnywe; naye anaagamba nti Nnywa, nange nnaanywesa n'eŋŋamira zo: oyo abeere oyo gwe walagirira omuddu wo Isaaka; era bwe ntyo bwe nnaategeera ng'olaze ekisa mukama wange. 15#Lub 11:29; 22:23Kale olwatuuka, bwe yali ng'akyayogera, laba, Lebbeeka n'afuluma, eyazaalirwa Bessweri omwana wa Mirika, mukazi wa Nakoli, muganda wa Ibulayimu, ng'alina ensuwa ye ku kibegabega kye. 16#Lub 26:7N'omuwala yali mulungi nnyo okulaba, omuwala omuto, so nga tewali musajja eyamumanya: n'aserengeta ku nsulo, n'ajjuza ensuwa ye, n'ayambuka. 17Omuddu n'adduka mbiro okumusisinkana, n'ayogera nti Onnywese, nkwegayiridde, otuzzi mu nsuwa yo. 18N'ayogera nti Nywa, mukama wange: n'ayanguwa n'assa ensuwa ye ku mukono gwe, n'amunywesa. 19Awo bwe yamala okumunywesa, n'ayogera nti Nnaasenera n'eŋŋamira zo zinywe zikkute. 20N'ayanguwa n'afuka ensuwa ye mu kyesero, n'adduka nate ku luzzi okusena, n'asenera eŋŋamira ze zonna. 21Omusajja n'amwekaliriza amaaso, ng'asirise, okutegeera nga Mukama awadde olugendo lwe omukisa oba nga tawadde. 22Awo olwatuuka, eŋŋamira bwe zaamala okunywa, omusajja n'addira empeta eya zaabu obuzito bwayo kitundu kya sekeri, n'emisagga egy'okubanga ku mikono gye obuzito bwagyo sekeri kkumi eza zaabu; 23n'ayogera nti Ggwe oli mwana w'ani? mbuulira nkwegayiridde. Mu nnyumba ya kitaawo mulimu ebbanga ffe okusula omwo? 24N'amugamba nti Nze ndi mwana wa Bessweri omwana wa Mirika, gwe yazaalira Nakoli. 25Era nate n'amugamba nti Tulina essubi era n'ebyokulya ebinaazimala, era n'ebbanga ery'okusulamu. 26#Lub 24:48,52, Kuv 4:31Omusajja n'akutama, n'asinza Mukama. 27#Lub 24:12,48; 32:10N'ayogera nti Mukama yeebazibwe, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, ataleka kusaasira kwe n'amazima ge eri mukama wange: nze, Mukama annuŋŋamizza mu kkubo eri ennyumba ya baganda ba mukama wange. 28Omuwala n'adduka, n'abuulira ab'omu nnyumba ya nnyina ng'ebigambo ebyo bwe biri. 29#Lub 25:20; 28:2Era Lebbeeka yalina mwannyina erinnya lye Labbaani: Labbaani n'afuluma n'adduka okusisinkana omusajja awali oluzzi. 30Awo olwatuuka, bwe yalaba empeta, n'emisagga egyali ku mikono gya mwannyina, era bwe yawulira ebigambo bya Lebbeeka mwannyina, ng'ayogera nti Bw'atyo omusajja bw'aŋŋambye; n'ajja eri omusajja; era, laba, yali ng'ayimiridde mu mbiriizi z'eŋŋamira awali ensulo. 31#Lub 26:29, Balam 17:2, Luus 3:10N'ayogera nti Yingira ggwe Mukama gw'awadde omukisa; kiki ekikuyimirizza ebweru? kubanga nteeseteese ennyumba, n'ekifo eky'eŋŋamira. 32#Lub 18:4; 43:24, Balam 19:21Omusajja n'ayingira mu nnyumba, n'asumulula eŋŋamira; n'awa essubi n'ebyokulya eby'eŋŋamira, n'amazzi okunaaza ebigere bye n'ebigere by'abasajja abaali naye. 33Ne bateeka emmere mu maaso ge alye: naye n'ayogera nti Siirye nga sinnayogera bye nnatumibwa. N'ayogera nti Yogera. 34N'ayogera nti Nze ndi muddu wa Ibulayimu. 35#Lub 13:2Era Mukama yawanga mukama wange omukisa mungi; era afuuse omukulu: era yamuwa embuzi n'ente, ne ffeeza ne zaabu, n'abaddu n'abazaana, n'eŋŋamira n'endogoyi. 36#Lub 21:2,10; 25:5Ne Saala mukazi wa mukama wange n'azaalira mukama wange omwana bwe yali ng'akaddiye: era oyo n'amuwa byonna by'alina. 37#Lub 24:3Ne mukama wange n'andayiza, ng'ayogera nti Toliwasiza mwana wange mukazi aliva mu bawala aba Abakanani, be ntuulira mu nsi yaabwe: 38naye oligenda eri ennyumba ya kitange, n'eri baganda bange, owasize omwana wange omukazi. 39Ne ŋŋamba mukama wange nti Mpozzi omukazi talikkiriza kujja nange. 40#Lub 17:1; 24:7N'aŋŋamba nti Mukama, gwe ntambulira mu maaso ge, alituma malayika we wamu naawe, aliwa olugendo lwo omukisa; naawe oliwasiza omwana wange omukazi aliva mu baganda bange, ne mu nnyumba ya kitange: 41#Lub 24:8bw'otyo tolibaako musango olw'ekirayiro kyange, bw'olituuka mu baganda bange; nabo bwe batalikuwa mukazi, ggwe nga toliiko musango olw'ekirayiro kyange. 42#Lub 24:12,21Leero ne njija awali oluzzi, ne njogera nti Ai Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, bw'onoowa kaakano omukisa olugendo lwange lwe ŋŋenda: 43#Lub 24:13,14laba, nnyimiridde awali ensulo y'amazzi; kale kibeere bwe kiti; omuwala anaafuluma okusena, gwe nnaagamba nti Ompe, nkwegayiridde, otuzzi mu nsuwa yo nnywe: 44naye anaŋŋamba nti nywa ggwe era nze naasenera n'eŋŋamira zo: oyo abeere oyo Mukama gwe yalagirira omwana wa mukama wange. 45#Lub 24:15-17Bwe mbadde nga nkyayogera mu mutima gwange, laba, Lebbeeka n'afuluma ng'alina ensuwa ye ku kibegabega kye: n'aserengeta ku nsulo, n'asena: ne mmugamba nti Nnywe, nkwegayiridde. 46#Lub 24:18-20N'ayanguwa, n'assa ensuwa ye okuva ku kibegabega kye, n'ayogera nti Nywa, nange naanywesa n'eŋŋamira zo: ne nnywa, naye n'anywesa n'eŋŋamira. 47#Kuv 16:11,12Ne mmubuuza ne njogera nti Ggwe oli mwana w'ani? N'ayogera nti Mwana wa Bessweri, omwana wa Nakoli, Mirika gwe yamuzaalira: ne nnaanika empeta mu nnyindo ye, n'emisagga ku mikono gye. 48#Lub 22:23; 24:26,27, Is 48:17Ne nkutama, ne nsinza Mukama, ne nneebaza Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, eyannuŋŋamya mu kkubo lyennyini okuwasiza omwana we omwana wa mwannyina mukama wange. 49#Lub 47:29, Yos 2:14Ne kaakano bwe munakkiriza okukolera mukama wange eby'ekisa n'eby'amazima, mumbuulire; era bwe mutakkirize, mumbuulire; ndyoke nkyukire ku mukono ogwa ddyo, oba ku gwa kkono. 50#Lub 31:24, Zab 118:23Labbaani ne Bessweri ne balyoka baddamu ne boogera nti Ekigambo ekyo kivudde eri Mukama: tetuyinza kukubuulira bibi newakubadde ebirungi. 51#Lub 24:42-46Laba, Lebbeeka ali mu maaso go, mutwale, ogende, abeere mukazi w'omwana wa mukama wo, Mukama nga bw'ayogedde. 52#Lub 24:26Awo olwatuuka, omuddu wa Ibulayimu bwe yawulira ebigambo ebyo, n'avuunama eri Mukama. 53Omuddu n'aleeta amakula aga ffeeza n'amakula aga zaabu n'ebyambalo, n'abiwa Lebbeeka: era n'awa ne mwannyina ne nnyina ebintu eby'omuwendo omungi. 54Ne balya ne banywa; ye n'abasajja abaali naye, ne basula ne bakeesa obudde; ne bagolokoka enkya, n'ayogera nti Munsiibule ŋŋende eri mukama wange. 55Ne mwannyina ne nnyina ne boogera nti Omuwala abeere naffe amale ennaku si nnyingi, ekkumi oba kusingawo; alyoke agende. 56N'abagamba nti Tondwisa, kubanga Mukama awadde omukisa olugendo lwange; munsiibule ŋŋende eri mukama wange. 57Ne boogera nti Tunaayita omuwala, tumubuuze mu kamwa ke. 58Ne bayita Lebbeeka, ne bamugamba nti Onoogenda n'omusajja ono? N'ayogera nti Nnaagenda. 59#Lub 35:8Ne basiibula Lebbeeka mwannyinaabwe, n'omulenzi we, n'omuddu wa Ibulayimu, n'abasajja be. 60#Lub 17:16; 22:17Ne basabira Lebbeeka omukisa, ne bamugamba nti Mwannyinaffe, beeranga nnyina w'abantu obukumi enkumi, n'ezzadde lyo liryenga omulyango gw'abo ababakyawa. 61Lebbeeka n'agolokoka n'abazaana be, ne beebagala ku ŋŋamira, ne bagenda n'omusajja: omuddu n'atwala Lebbeeka, ne yeegendera. 62#Lub 16:14; 25:11Isaaka n'ajja ng'ava mu kkubo ery'e Beerirakairoi; kubanga yali atuula mu nsi ey'obukiika obwa ddyo. 63Isaaka n'afuluma okufumiitiriza mu nnimiro akawungeezi: n'ayimusa amaaso ge, n'atunula, era, laba, eŋŋamira nga zijja. 64Lebbeeka n'ayimusa amaaso ge, era bwe yalaba Isaaka, n'ava ku ŋŋamira. 65N'agamba omuddu nti Musajja ki oyo atambulira mu nnimiro okutusisinkana? Omuddu n'ayogera nti Ye mukama wange: n'addira olugoye lwe olubikka mu maaso ne yeebikkako. 66Omuddu n'abuulira Isaaka byonna bye yakola. 67#Lub 23:2Isaaka n'amuleeta mu weema ya nnyina Saala, n'awasa Lebbeeka, n'aba mukazi we; n'amwagala: Isaaka n'asanyusibwa nnyina bwe yamala okufa.

Currently Selected:

Olubereberye 24: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy