YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 23

23
1 # Yer 32:9 Saala n'awangaala emyaka kikumi mu abiri mu musanvu: egyo gye myaka Saala gye yawangaala. 2#Lub 13:18Saala n'afiira mu Kiriasualaba (ye Kebbulooni), mu nsi ya Kanani: Ibulayimu n'ajja okukungubagira Saala, n'okumukaabira amaziga. 3Ibulayimu n'agolokoka n'ava eri omulambo gwe, n'agamba abaana ba Keesi nti 4#Zab 105:12, Bik 7:5, Beb 11:9Nze ndi mugenyi era mutambuze gye muli: mumpe ekifo eky'okuziikangamu okuba obutaka mu nsi yammwe, nziike omulambo gwange obutagulabangako. 5N'abaana ba Keesi ne baddamu Ibulayimu, nga bamugamba nti 6#Lub 13:2; 14:14Otuwulire, mukama wange: ggwe oli mukungu mukulu mu ffe: ziika omulambo gwo mu ntaana yaffe gy'oneeroboza mu zonna; tewali mu ffe agenda okukumma entaana ye, obutaziika omulambo gwo. 7Ibulayimu n'agolokoka, n'avuunamira abantu ab'omu nsi, be baana ba Keesi. 8N'ayogera nabo, ng'agamba nti Bwe mwagala nze okuziika omulambo gwange obutagulabangako, mumpulire, munneegayiririre Efulooni omwana wa Zokali, 9ampe empuku eya Makupeera, gy'alina, ekomerera mu lusuku lwe; aginguze omuwendo gwayo omulamba wakati mu mmwe okuba obutaka okuba entaana. 10#Lub 34:20, Luus 4:1,4Efulooni yali atudde wakati mu baana ba Keesi; Efulooni Omukiiti n'addamu Ibulayimu abaana ba Keesi nga bamuwulira, be bonna abaayingira mu mulyango gw'ekibuga, ng'ayogera nti 11#2 Sam 24:20-24Nedda, mukama wange, ompulire: olusuku ndukuwadde, n'empuku erulimu ngikuwadde; mu maaso g'abaana b'abantu bange ngikuwadde: ziika omulambo gwo. 12Ibulayimu n'avuunama mu maaso g'abantu ab'omu nsi. 13N'agamba Efulooni abantu ab'omu nsi nga bamuwulira, ng'ayogera nti Naye bw'onooyagala, nkwegayirira, ompulire: nnaasasula omuwendo gw'olusuku; gukkirize nkuwe, nange naaziika omwo omulambo gwange. 14Efulooni n'addamu Ibulayimu, ng'amugamba nti 15#Kuv 30:13Mukama wange, ompulire: akasuku omuwendo gwako essekeri eza ffeeza ebina kintu ki eri nze naawe? kale ziika omulambo gwo. 16#Yer 32:9Ibulayimu n'awulira Efulooni; Ibulayimu n'agerera Efulooni effeeza gye yali agambye abaana ba Keesi nga bamuwulira, essekeri eza ffeeza bina, nga effeeza eya bulijjo ey'omuguzi bwe yali. 17Awo olusuku lwa Efulooni, olwali mu Makupeera, etunuulira Mamule, olusuku n'empuku eyalimu, n'emiti gyonna egyali mu lusuku, egyali mu nsalo yaalwo yonna okwetooloola, 18byanywezebwa eri Ibulayimu okuba obutaka bwe mu maaso g'abaana ba Keesi, mu maaso ga bonna abaayingira mu mulyango gw'ekibuga kye. 19Oluvannyuma lw'ebyo Ibulayimu n'aziika Saala mukazi we mu mpuku ey'omu lusuku olwa Makupeera etunuulira Mamule (ye Kebbulooni), mu nsi y'e Kanani. 20#Luus 4:7-10, Yer 32:10,11N'olusuku n'empuku erulimu ne binywezebwa abaana ba Keesi eri Ibulayimu okuba obutaka bwe okuba ekifo eky'okuziikangamu.

Currently Selected:

Olubereberye 23: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy