YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 21

21
1 # Lub 17:19; 18:10, 1 Sam 2:21 Mukama n'ajjira Saala nga bwe yayogera, era Mukama n'akola Saala nga bwe yagamba. 2#Lub 17:19; 18:10, Beb 11:11Saala n'aba olubuto, n'azaalira Ibulayimu omwana ow'obulenzi ng'akaddiye, mu biro ebyo ebyateekebwawo Katonda bye yamugambako. 3#Lub 17:19Ibulayimu n'atuuma omwana we eyamuzaalirwa, Saala gwe yamuzaalira, erinnya lye Isaaka. 4#Lub 17:10-12, Bik 7:8Ibulayimu n'akomola omwana we Isaaka nga yaakamaze ennaku munaana, nga Katonda bwe yamulagira. 5#Lub 17:17Era Ibulayimu yali yaakamaze emyaka kikumi, omwana we Isaaka bwe yamuzaalirwa. 6#Is 54:1, Luk 1:14,58Saala n'ayogera nti Katonda ansesezza; buli anaawuliranga anaasekeranga wamu nange. 7N'ayogera nti Aluwa oyo eyandigambye Ibulayimu nga Saala aliyonsa abaana be? kubanga mmuzaalidde omwana ow'obulenzi ng'akaddiye.
8Omwana n'akula, n'ava ku mabeere: Ibulayimu n'afumba embaga ennene ku lunaku Isaaka lwe yaviirako ku mabeere. 9#Lub 16:1,15, Bag 4:29Saala n'alaba omwana wa Agali Omumisiri, gwe yazaalira Ibulayimu, ng'aduula. 10#Bag 4:30Kyeyava agamba Ibulayimu nti Goba omuzaana ono n'omwana we: kubanga omwana w'omuzaana ono tajja kubeera musika wamu n'omwana wange, ye Isaaka. 11N'ekigambo ekyo ne kiba kizibu nnyo mu maaso ga Ibulayimu olw'omwana we. 12#Bar 9:7, Beb 11:18Katonda n'agamba Ibulayimu nti Kireme okuba ekizibu mu maaso go olw'omulenzi, n'olw'omuzaana wo; mu byonna Saala by'anaakubuuliranga, owuliranga eddoboozi lye; kubanga mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaayitirwanga. 13#Lub 16:10Era ne mu mwana w'omuzaana ndimuviisaamu eggwanga, kubanga ye lye zzadde lyo. 14Ibulayimu n'agolokoka enkya mu makya, n'addira emmere n'ensawo ey'eddiba ey'amazzi, n'abiwa Agali, ng'abissa ku kibegabega kye, n'omwana, n'amusindika: n'agenda, n'atambuliratambulira mu ddungu ery'e Beeruseba. 15N'amazzi ag'omu ddiba ne gaggwaamu, n'asazika omwana wansi w'ekisaka ekimu. 16N'agenda, n'atuula wansi ng'amutunuulira walako, ng'ebbanga akasaale we kagwa: kubanga yayogera nti Nneme okulaba omwana ng'afa. N'atuula ng'amutunuulira, n'ayimusa eddoboozi lye, n'akaaba. 17Katonda n'awulira eddoboozi ly'omulenzi; ne malayika wa Katonda n'ayita Agali ng'ayima mu ggulu, n'amugamba nti Obadde otya, Agali? totya; kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly'omulenzi w'ali. 18#Lub 21:13Golokoka, oyimuse omulenzi, omukwate mu ngalo zo; kubanga ndimufuula eggwanga eddene. 19#Kubal 22:31, 2 Bassek 6:17, Luk 24:16Katonda n'azibula amaaso ge, n'alaba oluzzi lw'amazzi n'agenda, n'ajjuza eddiba amazzi, n'anywesa omulenzi. 20#Lub 16:12Katonda n'aba wamu n'omulenzi, n'akula; n'atuulanga mu ddungu, n'afuuka omulasi w'obusaale. 21N'atuulanga mu ddungu ery'e Palani: ne nnyina n'amuwasiza omukazi mu nsi y'e Misiri.
22 # Lub 20:2; 26:1,26,28, Is 8:10 Awo mu biro ebyo Abimereki ne Fikoli omukulu w'eggye ne bagamba Ibulayimu nti Katonda ali wamu naawe mu byonna by'okola: 23#Lub 20:14kale nno, ndayirira wano Katonda nga tonkuusekuusenga nze newakubadde omwana wange, newakubadde omwana w'omwana wange: naye ng'ekisa bwe kiri kye nkukoze, naawe ononkolanga bw'otyo nze, n'ensi gye watuulamu. 24Ibulayimu n'ayogera nti Nnaalayira. 25#Lub 26:15-22Ibulayimu n'anenya Abimereki olw'oluzzi lw'amazzi abaddu ba Abimereki lwe baamuggyako olw'amaanyi. 26Abimereki n'ayogera nti Simumanyi bw'ali eyakola bw'atyo; so tombuulirangako, so siwulirangako era, wabula leero. 27#Lub 26:28-31Ibulayimu n'addira endiga n'ente, n'abiwa Abimereki, ne balagaana endagaano bombi. 28Ibulayimu n'ateeka endiga enduusi musanvu ez'omu kisibo wamu zokka. 29Abimereki n'agamba Ibulayimu nti Endiga ezo enduusi omusanvu z'otadde awamu zokka amakulu gaazo ki? 30N'ayogera nti Endiga ezo enduusi omusanvu onooziweebwa mu mukono gwange, ekyo kibeere omujulirwa gye ndi, nga nze nnasima oluzzi olwo. 31#Lub 26:33Kyeyava ayita ekifo ekyo Beeruseba; kubanga eyo gye baalayirira bombi. 32Bwe batyo ne balagaanira endagaano mu Beeruseba: Abimereki n'agolokoka ne Fikoli omukulu w'eggye lye, ne baddayo mu nsi eya Abafirisuuti. 33#Lub 4:26; 12:8, Is 40:28(Ibulayimu) n'asimba omumyulira mu Beeruseba, n'akoowoolera eyo erinnya lya Mukama, Katonda ataggwaawo. 34Ibulayimu n'amala ennaku nnyingi mu nsi eya Abafirisuuti.

Currently Selected:

Olubereberye 21: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy