YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 20

20
1 # Lub 12:10-20; 26:6-11 Ibulayimu n'ava eyo n'atambula okugenda mu nsi ey'obukiika obwa ddyo, n'atuula wakati wa Kadesi ne Ssuuli; n'abeera mu Gerali. 2Ibulayimu n'ayogera ku Saala mukazi we nti Ye mwannyinaze: ne Abimereki kabaka w'e Gerali n'atuma, n'atwala Saala. 3#Yob 33:15,16, Zab 105:14Naye Katonda n'ajjira Abimereki mu kirooto eky'ekiro, n'amugamba nti Laba, ggwe oli mufu bufu, olw'omukazi gwe watwala; kubanga alina bba. 4#Lub 18:23Era Abimereki yali nga tannamusemberera: n'ayogera nti Mukama, olitta eggwanga newakubadde nga ttuukirivu? 5Teyaŋŋamba ye yennyini nti Ye mwannyinaze? naye omukazi, omukazi yennyini n'ayogera nti Ye mwannyinaze: nga nnina omutima omutuukirivu n'engalo ezitaliiko kabi bwe nnakola ekyo. 6#Lub 39:9Katonda n'amugamba mu kirooto nti, Weewaawo, mmanyi nga wakola ekyo ng'olina omutima omutuukirivu, era nange ne nkuziyiza okunnyonoona: kyennava nnema okukuganya okumukwatako. 7#1 Sam 7:5, Yob 42:8Kale nno zzaayo mukazi w'omusajja; kubanga ye nnabbi, naye alikusabira naawe oliba mulamu: era bw'otoomuzzeeyo, tegeera nga tolirema kufa, ggwe, n'ababo bonna. 8Abimereki n'agolokoka enkya mu makya, n'ayita abaddu be bonna, n'abuulira ebyo byonna mu matu gaabwe: abasajja ne batya nnyo. 9Abimereki n'alyoka ayita Ibulayimu, n'amugamba nti Onkoze ki? nange nnakwonoona ntya, ggwe okundeetera nze n'obwakabaka bwange okwonoona okunene? Onkoze ebikolwa ebitagwana kukola. 10Abimereki n'agamba Ibulayimu nti Walaba kiki, ekyakukoza ekyo? 11#Lub 12:12; 26:7; 42:18, Nge 16:6Ibulayimu n'ayogera nti Kubanga nalowooza nti Mazima okutya Katonda tekuli mu kifo kino; nange balinzita olwa mukazi wange. 12#Lub 11:29Era naye mazima ye mwannyinaze, mwana wa kitange, naye si mwana wa mmange; n'afuuka mukazi wange: 13#Lub 12:1,3kale, Katonda bwe yantambuzatambuza okuva mu nnyumba ya kitange, ne ndyoka mmugamba nti Kino kye kisa kyo ky'ononjolesanga; mu buli kifo mwe tunaatuukanga, oyogeranga ku nze nti Ye mwannyinaze. 14Ne Abimereki n'atwala endiga n'ente, n'abaddu n'abazaana, n'abiwa Ibulayimu, n'amuddiza Saala mukazi we. 15#Lub 13:9Abimereki n'ayogera nti Ensi yange eri mu maaso go: tuula gy'onooyagala. 16N'agamba Saala nti Laba, mpadde mwannyoko ebitundu lukumi ebya ffeeza: laba, ky'eky'okubikka ku maaso gy'oli eri abo bonna abali naawe; ne mu bigambo byonna ogattiddwa. 17#1 Sam 12:23, Yob 42:8Ibulayimu n'asaba Katonda: Katonda n'awonya Abimereki, ne mukazi we, n'a bazaana be; ne bazaala abaana. 18Kubanga Mukama yali asibidde ddala embuto zonna ez'omu nnyumba ya Abimereki, olwa Saala mukazi wa Ibulayimu.

Currently Selected:

Olubereberye 20: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy