YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 12

12
1 # Bik 7:3, Beb 11:8 Awo Mukama n'agamba Ibulaamu nti Va mu nsi ya nnyo, era awali ekika kyo, n'ennyumba ya kitaawo, oyingire mu nsi gye ndikulaga: 2#Lub 18:18, 1 Bassek 3:8nange ndikufuula eggwanga eddene, era naakuwanga omukisa, era naakuzanga erinnya lyo; era beeranga mukisa ggwe; 3#Lub 18:18; 22:18; 26:4; 27:29; 28:14, Kuv 23:22, Kubal 24:9, Zab 72:17, Bik 3:25, Bag 3:8nange naabawanga omukisa abanaakusabiranga ggwe omukisa, n'oyo anaakukolimiranga naamukolimiranga nze; ne mu ggwe ebika byonna eby'omu nsi mwe biriweerwa omukisa. 4Bw'atyo Ibulaamu n'agenda, nga Mukama bwe yamugamba; ne Lutti n'agenda naye: Ibulaamu yali yaakamaze emyaka nsanvu mu etaano bwe yava mu Kalani. 5#Lub 11:31Ibulaamu n'atwala Salaayi mukazi we, ne Lutti omwana wa muganda we, n'ebintu byabwe byonna bye baali bakuŋŋaanyizza, n'abantu be baafunira mu Kalani; ne bavaayo okuyingira mu nsi ya Kanani; ne bayingira mu nsi ya Kanani. 6#Ma 11:30, Balam 7:1Ibulaamu n'ayita mu nsi n'atuuka mu kifo kya Sekemu, awali omuvule gwa Mmoole. Era Omukanaani yali mu nsi mu biro ebyo. 7#Lub 13:15; 17:8, Kuv 33:1, Ma 34:4Mukama n'alabikira Ibulaamu, n'ayogera nti Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno: n'azimbira eyo ekyoto eri Mukama eyamulabikira. 8#Beb 11:9N'avaayo n'agenda awali olusozi ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Beseri, n'asimba eweema ye, e Beseri nga kiri ku luuyi olw'ebugwanjuba, ne Ayi ku luuyi olw'ebuvanjuba: n'azimbira eyo ekyoto eri Mukama, n'akaabira erinnya lya Mukama. 9Ibulaamu n'atambula, ng'akyakwata ekkubo ery'obukiika obwa ddyo. 10Ne wagwa enjala mu nsi: Ibulaamu n'aserengeta mu Misiri, okutuula omwo kubanga enjala yali nnyingi mu nsi. 11Awo, bwe yali ng'anaatera okuyingira mu Misiri n'alyoka agamba Salaayi mukazi we nti Laba, mmanyi nga gw'oli mukazi mulungi okulaba: 12#Lub 20:1-18kale, Abamisiri bwe balikulaba, kyebaliva boogera nti Oyo ye mukazi we: era balinzita nze, naye ggwe balikuwonya mulamu. 13Oyogeranga, nkwegayiridde, nga gw'oli mwannyinaze: ndyoke ndabe ebirungi ku bubwo, n'obulamu bwange buwone ku lulwo. 14Awo Ibulaamu bwe yamala okuyingira mu Misiri, Abamisiri ne balaba omukazi nga mulungi nnyo. 15#Es 2:16, Lub 2:8; 19:17,24,25,28, Ma 34:3, Zab 107:34N'abakungu ba Falaawo ne bamulaba, ne bamutendereza eri Falaawo; ne batwala omukazi mu nnyumba ya Falaawo. 16N'akola bulungi Ibulaamu ku bubwe: n'aba n'endiga, n'ente, n'endogoyi ensajja, n'abaddu, n'abazaana, n'endogoyi enkazi, n'eŋŋamira. 17#Zab 105:14Mukama n'abonyaabonya Falaawo n'ennyumba ye n'ebibonoobono ebikulu olwa Salaayi mukazi wa Ibulaamu. 18Falaawo n'ayita Ibulaamu, n'ayogera nti Kino kiki ky'onkoze? kiki ekyakulobera okumbuulira nga ye mukazi wo? 19Kiki ekyakwogeza nti Ye mwannyinaze? nange n'okutwala ne mmutwala okuba mukazi wange: kale kaakano laba mukazi wo omutwale, weegendere. 20Falaawo n'amulagiririza abasajja: ne bamuwerekerako ye ne mukazi we ne byonna bye yalina.

Currently Selected:

Olubereberye 12: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy